Ebyaava Mukubala Abantu Webiri Mubikozese- Dr. Mukiza

Akulira ekitongole ekivunanyizibwa kubibalo muggwanga ki Uganda Bureau of statistics Dr Chris Mukiza asabye bannauganda awamu nebitongole ebyenjawulo okweyambisa ebibalo ebyafulumizibwa ekitongole kino munteekateeka zaabwe kubanga byatekebwamu sente z’omuwi womusolo
Okwogera bino Ono abadde aliko ebyuma omuli tablets byakwasa ebitongole ebyenjawulo nga kinajjukira nti bino byebimu kubyakozesebwa mukubala abantu okwasembayo omwaka oguwedde. obuuma obwogerwako busoba mumitwalo 12.
Mubawereddwa obuuma buno kubaddeko amatendekero agawaggulu okuli Makerere  nga bano bawereddwa 700, ssetendekero wa Gulu, Lira, Busitema nga buli ttendekero lifunye obuuma 200, Mbarara university 350, obwakabaka bwa Buganda 1000, obwakyabazinga bwa Busoga 500, Bunyoro Kitara 550 awamu nebiralala nga bwonna awamu obugabiddwa buli 5,195.
Okusinziira ku akulira ekitongole kino Dr Chris Ndatira Mukiza ategeezeza nga buno bwebuwereddwayo okuyambako ebitongole bino mukukola okunonyereza awamu nokubitekeratekera
ono ategezezza nga bwewaliwo obuuma obwasooka okuweebwa akakiiko kebyokulonda okuyamba munteekateeka zokuwandiisa abalonzi waddenga akakiiko kaategeza nga bwebutaali mumbeera nnungi.
ekitongole kyongedde okugumya bannauganda kubyafulumiza ebikwata kubibalo byabantu muggwanga nga Dr. Mukiza agamba webiri era nga bisobola okufunibwa buli muntu okuyamba munteekateeka ezigasa bannansi.
Abakwasiddwa ebyuma bino kulwebitongole ebyenjawulo batendereza ekitongole ki UBOS akensusso olwomulimu gwekyaakola era nebeyama nabo okubukozesa obulunji

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *