Engeri Among Gyeyawangudde Ekifo ku CEC Nebitundu 92.8, Kadaga Yevuma Ekibiina
Sipiika wa palamenti Annet Anita AMong webukeredde olwaleero nga alangiriddwa nga omuwanguzi mukalulu akabadde aka vvaawo mpitewo kukifo kyomumyuka wa sentebe wa NRM owokubiri nga mukyala mukulonda okuyindidde mukisaawe e Kololo.
Among yafunye obululu 11,680 nga byebitundu 92.8 nga yawangudde omumyuka wa sabaminisita asooka Rebecca Alitwala Kadaga eyafunye obululu 902 nga byebitundu 7.2. Akalulu kano akaabaddemu okwewereza ebisongovu wamu nokwerangira okukatekamu ensimbi okugulirira abalonzi kagambibwa okuba nga kekakyasinze okuba akamaanyi nokuletawo obunkenke mubyobufuzi bya uganda.

obuwanguzi bwa Among bwalabikiddewo mukisera nga abalonzi beyiwa kunyiriri ezabadde empanvu ssonga Kadaga yabadde nabantu balubatu. Among yefuze ebitundu ebisinga ebyeggwanga, okuli nebunayira, nga eno Among yafunyey obululu 71 ssonga kadaga yafunye 36, mubitundu bye Rwenzori, Among yafunye 835 Kadaga nafuna 13, e Teso Among yafunye 899 Kadaga nafunawo kamu, mu bendobendo lye Masaka Among yefunye 581 Kadaga nafunayo 25. mu Ankole Among yafunye 1,524 Kadaga nafuna65, e Kigezi Among afunye 576 ate Kadaga 30, Bunyoro Among afunye 740 Kadaga 8, mubendo bendo lye luwero Among 306 ate Kadaga 26, westnile Among 1,022 Kadaga 7, Acholi Among 744 Kadaga 21, Lango Among 687 Kadaga 12.
Nebitundu bya Busoga ebibadde bimanyiddwa okuwa Kadaga enkizo byamweganyi nga mu district okuli Kaliro, Bugiri, Namayingo, ne Buyende Among yamuwagulidde waggulu nobululu 499 ate kadaga nafuna 455.
obunwaguzi bwa Among bwalangiriddwa sentebe wakakiiko kebyokulonda mu NRM Dr Tanga Odoi era nga yegasse kulukiiko lwa NRM olwokuntikko. Kadaga awerezza nga amyuka sentebe wa wekibiina kya NRM okuva mumwaka 2021 ekifo kyeyafuna oluvanyuma lwokuva kubwa sipiika wa palamenti entebe gyeyalekera Jacob Oulanya kati omugenzi.
Among yeyadda mubigere bya Jacob Oulanya bweyava mubulamu bwensi eno, era nga ono ekifo kino akitaddeko okuvuganya okwamanyi .
oluvanyuma lwebyalangiriddwa, waliwo obubaka obutandise okuyita kumikutu obulaga obwenyamivu bwa Rebecca Kadaga eri ekibiina wamu nengeri ensimbi gyezakozeseddwamu okugulirira abalonzi wamu nokutisiibwatisibwa, waddenga biri bityo, ono agamba ekibiina akyakyagala. ono agamba agamba singa embeera eyongerwa okwononeka mukibiina, yandikakibwa okwabulira ekibiina.


