Eng Balimwezo Aweze Okulwanyisa Enguzi Mukibuga
Omubaka wa palamenti akyikirira abantu be Nakawa East munnakibiina kya NUP Eng Ronald Nsubuga Balimwezo olwaleero yewandisizza eri akakiiko kebyokulonda nga kumulundi guno ayagala kuvuganya kubwa loodi meeya bwekibuga Kampala ekifo ekirimu Erias Lukwago
Balimwezo yomu kubaalabikidde kunkalala zekibiina kya NUP oluvanyuma lwokuweebwa kaadi okukyikirira ekibiina mukalulu akajja.
Waddenga waliwo abalowooza nti Bslimwezo akoze bulungi ekisanja kye ekimu mu palamenti, wabula ono alina endowooza nti amaanyi ge wakugalagira mukibuga kampala kyagamba nti binji ebitakoleddwako byayagala okukola.
Oluvanyuma lwokwewandiisa, Balimwezo yeyamye okutekawo obukulembeze obutekkiriranya kunsonga zenguzi, okunyweza enfuga yamateeka nokulaba nga abavubuka mukibuga kampala bafuna emirimu.
Ono akkatirizza nga obukulembeze bwe bwebugenda okutunulira okukola emirimu mubwesimbu wamu nokutuusa empereza ennungi kubuli munnakampala
Eng Balimwezo nga tannaba kuyingira palamenti, yawerezako mu gavumenti ezebitundu nga kati wakuvuganya ne loodi meeya aliko salongo Erias Lukwago


