ESSANYU E BUSOGA: Obwa kyabazinga Bufunye Abalangira
Obwakyabazinga bwa Busoga buli mu ssanyu oluvanyuma lwa Kyabazinga wa Busoga William Gabula Nadiope 1v ne Inhebantu Jovia Mutesi okufuna ezzadde lyabalongo
Okusinziira kumawulire agava mulubiri, omulangira William Ethan Nadiope nomulangira Arnold Eli Nadiope bazaaliddwa nga 27 omwezi gwa August omwaka guno era agavayo galaga nti abazadde nabalangira bali mumbeera nnungi ddala.
amawulire gano gafulumiziddwa Eng Patrick Batumbya eyakulemberamu enteekateeka zemikolo gyembaga eya Isebantu wamu ne Inhebantu eyaliwo mumwezi ogwa November omwaka 2023. Ono agamba nti ekkula elitukiddwako lyakwongera okunyweza olunyiriri lwobwakyabazinga.


