Rosette Nansamba

Eng Balimwezo Aweze Okulwanyisa Enguzi Mukibuga

Omubaka wa palamenti akyikirira abantu be Nakawa East munnakibiina kya NUP Eng Ronald Nsubuga Balimwezo olwaleero yewandisizza eri akakiiko kebyokulonda nga kumulundi guno ayagala kuvuganya kubwa loodi meeya bwekibuga Kampala ekifo ekirimu Erias Lukwago Balimwezo yomu kubaalabikidde kunkalala zekibiina kya NUP oluvanyuma lwokuweebwa kaadi okukyikirira ekibiina mukalulu akajja. Waddenga waliwo abalowooza nti Bslimwezo akoze bulungi…

Read More

Mwewale Eggaali Mukalulu: Poliisi Erabudde Bannabyabufuzi

Poliisi erabudde bannabyabufuzi wamu nabawagizi babwe okwewala okukunga ebibinja byabantu abamayiddwa nga Eggaali, mukiseera kyetugendamu ekyokusunsula abegwanyiza ebifo mu gavumenti ezebitundu  mukulonda okugenda okubaawo okuva nga 3 omweezi ogwomwenda okutuuka 5. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi muggwanga Rusoke Kituuma, enkola yokutambula neggaali z’ebyobufuzi kyabulabe nnyo eri bannabyabufuzi ssonga era zitataganya emirimu wamu nebyentambula. kituuma agamba…

Read More

ESSANYU E BUSOGA: Obwa kyabazinga Bufunye Abalangira

Obwakyabazinga bwa Busoga buli mu ssanyu oluvanyuma lwa Kyabazinga wa Busoga William Gabula Nadiope 1v ne Inhebantu Jovia Mutesi okufuna ezzadde lyabalongo Okusinziira kumawulire agava mulubiri, omulangira William Ethan Nadiope nomulangira Arnold Eli Nadiope  bazaaliddwa nga 27  omwezi gwa August omwaka guno era agavayo galaga nti abazadde nabalangira bali mumbeera nnungi ddala. amawulire gano gafulumiziddwa…

Read More

Engeri Among Gyeyawangudde Ekifo ku CEC Nebitundu 92.8, Kadaga Yevuma Ekibiina

Sipiika wa palamenti Annet Anita AMong webukeredde olwaleero nga alangiriddwa nga omuwanguzi mukalulu akabadde aka vvaawo mpitewo kukifo kyomumyuka wa sentebe wa NRM owokubiri nga mukyala mukulonda okuyindidde mukisaawe e Kololo. Among yafunye obululu 11,680 nga byebitundu 92.8 nga yawangudde omumyuka wa sabaminisita asooka Rebecca Alitwala Kadaga eyafunye obululu 902 nga byebitundu 7.2. Akalulu kano…

Read More

Mukomye Okuggya Ensimbi Kubayizi Mu Masomero ga Gavumenti- Museveni

Mukaseera k’ebyobufuzi nga kano nga eggwanga lyetegekera okulonda kwabonna okusalawo ani mukulembeze addako okuva kuntebe enkulu eyeggwanga okutuukira ddala wansi kubifo ebisokerwako, ebibiina bitegeka ttabamiruka nga akatuuti okukoka okusalawo okwomuzinzi, naddala kunsonga zobukulembeze ne demokulasiya. nolunaku olwaleero bannakibiina kya NRM bakedde kweyiwa mukisaawe e kololo okwetaba mu ttabamiruka wekibiina nga aggulwawo era omukulembeze weggwanga Yoweri…

Read More

Gavumenti Yakwewola mu AFREXIM Bank Okuwagira Embalirira Y’omwaka guno

Gvaumenti ya uganda yakwewola ensimbi za Uganda akase kamu nobuwumbi 1000 okuva mu banka ya AFREXIM okusobola okuwagira enteeka zokuzimba, okuddabiriza enguudo, wamu nensonga zenkulakulana endala nga  bwebyagerekebwa mumbalirira yomwaka gw’ebyensimbi guno 2024/25. Okusinziira ku minisita we by’ensimbi Matia Kasaija,  ensimbi zino ezigenda okwewolebwa zakukola kubintu ebyenkizo okuli okwongera omutindo kubirime,  okuyamba kunteekateeka z’okusima amafuta,…

Read More

Akakiiko katandise okuwuliriza okwemulugunya okwaava mu kamyuufu ka NRM

Akamyuufu ka NRM akaggwa kaalabikiramu emivuyo mingi omwaali effujjo, enguzi nabasinga obutamatira byaava mukulonda. Mubitundu ebisinga ebyava mukulonda byalangirirwa wayisewo ennaku, nebitundu ebirala waliyo okuttingana nokukiwa omusaayi. Oluvanyuma lwabavuganya okwemulugunya kubyava mukulonda, mukulembeze weggwanga Yowering Kaguta Museveni yatondawo akakiiko akakulemberwa omulamuzi John Musisi okuwuliriza okwemulugunya kwonna okwaava mukalulu. Akakiiko Kano kabantu 29, era nga baawuddwa…

Read More

Sseggona Mumativu Nenteekateeka ya NUP eyokugaba Kaadi

Ekibiina Kya NUP, kitandise enteekateeka zokusunsula abanakwatira ekibiina bendera mukalulu kabonna akagenda okubaawo mu January w’omwaka ogujja, Okusinziira kunteekateka z’ekibiina, bakutandikira kubagala okwesogga palamenti mu Kampala, Busiro East, nebitundu ebirala. Omubaka Medard Lubega Seggona omu kubakulu mukibiina Kya NUP agamba bannauganda batekeddwa okwesiga okusalawo kwekibijna nokukiwa omukisa okulaga obwerufu muntekateka agenda mumaso. Enteekateeka eno etunuliddwa…

Read More

Kiki Ekyaviriddeko ba Minisita ba Museveni Okuwangulwa

Akamyuufu k’ekibiina kya NRM, akaakubiddwa sabiiti ewedde, kaalese abantu banji mukuyongobera okuli neba minisita wamu nababaka ba palamenti abaluddeyo emyaka egiwera. Bano banji baasigadde mukunyiga biwundu wamu nokuzirika oluvanyuma lwabamusaayi muto okwefuga akalulu akaalabikiddemu emivuyo emingi, okulwanagana nokwerumiriza okunyaga obululu mubannakibiina abamu. Abamu kubaasuliddwa ettale kuliko minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi David Bahati, minisita omubeezi ow’emirimu Musa Ecweru,…

Read More

KITALO: Abantu abenjawulo bogedde kumugenzi Kanyeihamba

Omulamuzi wa kooti ensukkulumu eyanyuka Prof George Kanyeihamba olwaleero avudde mubulamu bwensi eno oluvanyuma lwebbanga nga atawanyibwa n’obulwadde. Okusinziira kumawulire okuva mubenganda, omugenzi afiridde mu ddwaliro e Nakasero gyamaze ennaku nga awanirirwa kubyuuma. Kanyeihamba yazalibwa nga 11, Agusto 1939, era nga abadde omu kubanmmateeka abamaanyi mu ggwanga uganda wamu nobukugu mubyenjigiriza. Ono wakusigala nga ajjukirwa…

Read More