Mwewale Eggaali Mukalulu: Poliisi Erabudde Bannabyabufuzi
Poliisi erabudde bannabyabufuzi wamu nabawagizi babwe okwewala okukunga ebibinja byabantu abamayiddwa nga Eggaali, mukiseera kyetugendamu ekyokusunsula abegwanyiza ebifo mu gavumenti ezebitundu mukulonda okugenda okubaawo okuva nga 3 omweezi ogwomwenda okutuuka 5.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi muggwanga Rusoke Kituuma, enkola yokutambula neggaali z’ebyobufuzi kyabulabe nnyo eri bannabyabufuzi ssonga era zitataganya emirimu wamu nebyentambula. kituuma agamba poliisi tegenda kutunula butunuzi nga abantu beyiwa kunguudo okutataganya emirimu gyakakiiko kebyokulonda nga ayagala buli omu agoberere amateeka okusobola okuba nakalulu akemirembe.
Kituuma awadde ekyokulabirako kyomu kubesimbyewo gyebuvuddeko eyasazibwamu akakiiko kebyokulonda lwabutaba nabiwandiiko byetagisa, wabula ate nakunga abawagizi be nebakyankalanya emirimu okukakkana nga waliwo abalumiziddwa mukanyolagano nabamu okukwatibwa.
Emirundi minji bannabyabufuzi bazze balabibwako nga batambula nebibinjaa byabavubuka okusobola okusaggula akalulu wamu nokulaga obuwagizi mungeri ya Vayibu wabula ensanji nyinji ebikolwa ebyefujjo birabiddwa ssinga wabawo okulemesebwa abebyokwerinda, oba okucookozebwa enjuyi endala ezibavuganya.
Eggaali zino zibadde zisinga kumanyibwa mubayimbi wabula ensanji zino buli ayagala okuvuganya, asooka kukunga bantu bagenda okutambula nabo okutuuka kubantu okusaba obululu
Rusoke asinzidde wano nasaba abavuganya okugondera amateeka agabaweebwa akakiiiko kebyokulonda wamu naga poliisi baleme okutataganyizibwa.


