Mukomye Okuggya Ensimbi Kubayizi Mu Masomero ga Gavumenti- Museveni

Mukaseera k’ebyobufuzi nga kano nga eggwanga lyetegekera okulonda kwabonna okusalawo ani mukulembeze addako okuva kuntebe enkulu eyeggwanga okutuukira ddala wansi kubifo ebisokerwako, ebibiina bitegeka ttabamiruka nga akatuuti okukoka okusalawo okwomuzinzi, naddala kunsonga zobukulembeze ne demokulasiya.

nolunaku olwaleero bannakibiina kya NRM bakedde kweyiwa mukisaawe e kololo okwetaba mu ttabamiruka wekibiina nga aggulwawo era omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni eranga ye sentebe wekibiina kino ekya NRM. langi ya kyenvu (yellow) yefuze ekisaawe nga bangi abavuganya mukibiina kino batimbye ebipande byabwe okulaba ebifo byebavuganyaako okuviira ddala wabweru wekisaawe okutuuka munda.

Bwabadde ayogerako eri bannakibiina mukuggulawo ttabamiruka atandise olunaku olwaleero, omukulembeze weggwanga era nga ye sentebe wekibiina Yoweri Kaguta Museveni yenyamidde olw’ebyenjigiriza webituuse nayambalira abakulu mumasomero ga gavumenti ebakyagufudde omuze okuggya ensimbi kubayizi abaavu ekivirako banji okulemererwa emisomo gyabwe.

Museveni agamba mukisanja ekijja ssinga NRM enakomawo mubuyinza, bakufuba okulaba nga ebyenjgiriza mumasomero ga gavumenti bibeera byabwerere kubanga emyaka minji kyogeddwako nga tekitekebwa munkola. ono agamba gavumenti ezze eteeka ssente nyinji mumasomero ga gavumenti wabula nga waliwo abaggya ensimbi kubayizi kyagamba nti kikyaamu nnyo.

Museveni era agamba waddenga amasomero g’obwananyini manji wano muggwanga bwogerageranya nagazimbibwa gavumenti, wabula omuwendo gwabayizi omungi guli mumasomero ga gavumenti ekiraga nti gavumenti erina okwongeramu amanyi okufuula ebyenjigiriza ebyobwerere eri buli munnansi.

Mungeri yemu omukulembeze alaze nga ekisanja ekiddako bwebagenda okwongera amanyi mukuddabiriza enguudo era nga buli district yakuweebwa akawumbi  kamu nobukadde 300, ssonga era ensonga nyinji omukulembeze zataddeko essira, naddala ebyobulamu nengeri yokulondolamu eddagala wamu nokugema abantu endwadde. ensonga endala yabwakwerinda, amazzi amayonjo wamu nokulwanyisa obwavu, obulyake  era nga  alina esuubi nti bannauganda bakubeera basanyufu

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *