Akakiiko katandise okuwuliriza okwemulugunya okwaava mu kamyuufu ka NRM

Akamyuufu ka NRM akaggwa kaalabikiramu emivuyo mingi omwaali effujjo, enguzi nabasinga obutamatira byaava mukulonda. Mubitundu ebisinga ebyava mukulonda byalangirirwa wayisewo ennaku, nebitundu ebirala waliyo okuttingana nokukiwa omusaayi.
Oluvanyuma lwabavuganya okwemulugunya kubyava mukulonda, mukulembeze weggwanga Yowering Kaguta Museveni yatondawo akakiiko akakulemberwa omulamuzi John Musisi okuwuliriza okwemulugunya kwonna okwaava mukalulu.
Akakiiko Kano kabantu 29, era nga baawuddwa mubibinja byabantu munaana nga buli kimu kiriko bannamateeka basatu.
Mukiseera kino akakiiko Kano kakafuna okwemulugunya kwamirundi 380, era  kusuubirwa okweyongera nga kugattidwako okwaba ssentebe ba disitulikiti, ba kansala ba munisipaali nekirala.
Kulunaku olusooka, akakiiko Kano kasuubira okuwuliriza okwemulugunya kwamirundi 56, era webutukidde olwaleero nga abemulugunya banji batuuse okuwuliriza ensonga zabwe.
Esimu kunsonga ezisokerwako kuliko ey’omubaka omukyala owe Napak Faith Nakut, NGA ono obuwanguzi bwe buwakanyizibwa Naomi Stella. Ssonga era waliwo okwemulugunya kweyaliko RDC Anderson Burora kukifo Kya Nakawa west.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *