Kiki Ekyaviriddeko ba Minisita ba Museveni Okuwangulwa
Akamyuufu k’ekibiina kya NRM, akaakubiddwa sabiiti ewedde, kaalese abantu banji mukuyongobera okuli neba minisita wamu nababaka ba palamenti abaluddeyo emyaka egiwera.
Bano banji baasigadde mukunyiga biwundu wamu nokuzirika oluvanyuma lwabamusaayi muto okwefuga akalulu akaalabikiddemu emivuyo emingi, okulwanagana nokwerumiriza okunyaga obululu mubannakibiina abamu.
Abamu kubaasuliddwa ettale kuliko minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi David Bahati, minisita omubeezi ow’emirimu Musa Ecweru, Jennifer Namuyangu minisita omubeezi ow’ensonga ze Bunyoro, Joyce kaducu Minister omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako nabalala.
Ssi ba minisita bokka wabula nababaka banji ababadde mu palamenti ku kaadi ya NRM.
okusinziira kubatunulizi b’ensonga kino kyavudde kubwesige abalonzi bwebajje mubakulu abo, empereza ennafu, ssonga namateeka agazze gabagibwa abalonzi gebagamba nti ganyigiriza omuntu asookerwako. kumulundi guno abalonzi balowooza nti okuwereza abantu abapya mu palamenti kyakubayambako okulaba nga bafuna kumpereza eyenjawulo.
Abatunulizi b’ebyobufuzi bagamba nti nemivuyo egyalabikidde mukalulu kano gyalaga ekifananyi ekituufu kwebyo ebigenda okubaawo mukalulu kabonna akagenda okubaawo mumwezi gwa January omwaka ogujja.
Bano era balowooza nti emivuyo gino munda mukibiina kya NRM gyalaze ekifananyi ekituufu ekiri munda mukibiina era nokwanika obunafu obuli munda. Akaseera akazibu kolekedde omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni okusalawo oba nga bano agenda kubakomyawo mu kabineeti eddako singa naye anaaba awangudde ekisanja ekirala.
bbo ba minisita abaawanguddwa mukiseera kino tekimanyiddwa kyebazaako waddenga abasinga basuubira okudda okuvuganya kubwanamunigina ekikontana nenteekateka z’ekibiina.
Nga ebbugumu lya kalulu kabonna lyeyongera, oluvanyuma lwakamyuufu ka NRM, nebibiina ebirala biri muntekateka okulaba abanabakwatira bendera okuvuganya naabo abaayisewo ku NRM.


