Pulezidenti Museveni enkya Asuubirwa okujjayo Empapula okuvuganya mu Kalulu

Omukulembeze w’eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni esaawa yonna asuubirwa okujjayo empapula eziraga obwetaavu bwokwongera okukulembera eggwanga lino uganda.
okusinziira ku sentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Dr. Tanga Odoi, Museveni wakulabikako kulunaku olwomukaaga era nga yagenda okukwatira ekibiina kya NRM bendera kukifo kyomukulembeze weggwanga era sentebe wekibiina kya NRM.

“nga abavuganya abalala bwebakoze, ne pulezidenti Museveni wakulabikako mubuntu okujjayo empapula, ono yegwanyiza ebifo biri okuli ekya sentebe w’ekibiina kya NRM nekirala ssinga aba awereddwa omukisa okukwatira ekibiina bendera kubwa pulezidenti”

Pulezidenti Museveni ayagala kukulembera ggwanga ekisanja ekyomusanvu okuva lweyajja mubuyinza mumwaka ogwa 1986 okutuusa olwaleero.

ono essira azze aliteeka kunkulakulana n’okutumbula embeera zabantu, okutebenkeza emirembe munda muggwanga nebweru wamu nenkolagana y’amawanga amalala

Mukiseera kino ekibiina kya nNRM kigenda mumaaso nenteekateeka zokulonda  obukulembeze munda  mukibiina nga betegekera okulonda kwabonna okugenda okuberayo omwaka ogujja.

okusinziira kunteekateeka z’ekibiina kya NRM,  bonna abegwanyiza ebifo kulukiiko lwa CEC olwokuntikko bakutandika okujjayo empapula okuva nga 26 omwezi ogwomukaaga okutuuka nga 1 July, ssonga okusunsula kwakuberayo nga 4 july

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *