Pulezidenti Museveni enkya Asuubirwa okujjayo Empapula okuvuganya mu Kalulu
“nga abavuganya abalala bwebakoze, ne pulezidenti Museveni wakulabikako mubuntu okujjayo empapula, ono yegwanyiza ebifo biri okuli ekya sentebe w’ekibiina kya NRM nekirala ssinga aba awereddwa omukisa okukwatira ekibiina bendera kubwa pulezidenti”
Pulezidenti Museveni ayagala kukulembera ggwanga ekisanja ekyomusanvu okuva lweyajja mubuyinza mumwaka ogwa 1986 okutuusa olwaleero.
ono essira azze aliteeka kunkulakulana n’okutumbula embeera zabantu, okutebenkeza emirembe munda muggwanga nebweru wamu nenkolagana y’amawanga amalala
Mukiseera kino ekibiina kya nNRM kigenda mumaaso nenteekateeka zokulonda obukulembeze munda mukibiina nga betegekera okulonda kwabonna okugenda okuberayo omwaka ogujja.
okusinziira kunteekateeka z’ekibiina kya NRM, bonna abegwanyiza ebifo kulukiiko lwa CEC olwokuntikko bakutandika okujjayo empapula okuva nga 26 omwezi ogwomukaaga okutuuka nga 1 July, ssonga okusunsula kwakuberayo nga 4 july


