Mwewale Eggaali Mukalulu: Poliisi Erabudde Bannabyabufuzi

Poliisi erabudde bannabyabufuzi wamu nabawagizi babwe okwewala okukunga ebibinja byabantu abamayiddwa nga Eggaali, mukiseera kyetugendamu ekyokusunsula abegwanyiza ebifo mu gavumenti ezebitundu  mukulonda okugenda okubaawo okuva nga 3 omweezi ogwomwenda okutuuka 5. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi muggwanga Rusoke Kituuma, enkola yokutambula neggaali z’ebyobufuzi kyabulabe nnyo eri bannabyabufuzi ssonga era zitataganya emirimu wamu nebyentambula. kituuma agamba…

Read More