Ekimu kubibiina by’obufuzi ebikyali ebipya ekya PFF ekyekutula ku FDC gyebuvuddeko kyongedde okusajjakula nga wetwogerera bategeka kutongoza semateeka w’ekibiina kyabwe n’okutema empenda kubutya bwebagenda okutambuza ekibiina.
Enteekateeka wetwogerera zigenda mumaaso nga kino kikoleddwa oluvanyuma lwekibiina okukungaanya emikono egyetagisa okwetolola district za uganda okusobola okuwandiisibwa nga ekibiina mubujjuvu. abakungu okuva mubitundu bya uganda ebyenjawulo basuubirwa kumukolo gwenkya nga bakwasa banna uganda ekibiina mubutongole. kumukolo guno, semateeka w’ekibiina wakutongozebwa, wamu nokwanjula obukulembeze bw’ekibiina obugenda okuwereza okumala emyaka 2, ssonga n’obubonero bwekibiina bwakwanjulwa.
okusinziira kubakulu mukibiina kino ekya PFF, omukolo guno gwakulaga eggwanga obumalirivu bwabwe wamu nokwewayo nga bateeka kumwanjo ensonga yokugatta eggwanga, obwenkanya, wamu nokuwa bannansi bonna eddembe lyabwe. bano era balaze nga bwebali abetegefu okwenyigira mubyobufuzi bya uganda mukalulu akaddako mu 2026.
Mubasuubirwa kumukolo guno kuliko bannabyabufuzi nabawagizi bekibiina kino ekipya, abatunulizi bensonga zeby’obufuzi, bannakyeewa nabantu abalala.


