Kiki Ekyaviriddeko ba Minisita ba Museveni Okuwangulwa
Akamyuufu k’ekibiina kya NRM, akaakubiddwa sabiiti ewedde, kaalese abantu banji mukuyongobera okuli neba minisita wamu nababaka ba palamenti abaluddeyo emyaka egiwera. Bano banji baasigadde mukunyiga biwundu wamu nokuzirika oluvanyuma lwabamusaayi muto okwefuga akalulu akaalabikiddemu emivuyo emingi, okulwanagana nokwerumiriza okunyaga obululu mubannakibiina abamu. Abamu kubaasuliddwa ettale kuliko minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi David Bahati, minisita omubeezi ow’emirimu Musa Ecweru,…


