Omulamuzi wa kooti ensukkulumu eyanyuka Prof George Kanyeihamba olwaleero avudde mubulamu bwensi eno oluvanyuma lwebbanga nga atawanyibwa n’obulwadde. Okusinziira kumawulire okuva mubenganda, omugenzi afiridde mu ddwaliro e Nakasero gyamaze ennaku nga awanirirwa kubyuuma.
Kanyeihamba yazalibwa nga 11, Agusto 1939, era nga abadde omu kubanmmateeka abamaanyi mu ggwanga uganda wamu nobukugu mubyenjigiriza. Ono wakusigala nga ajjukirwa nnyo mukulwanirira ensonga za semateeka wamu neddembe lyobuntu.
Ono ajjukirwa okuwerezaako mubifo ebyenkizo ennyo okuli kkooti enkulu nokusingira ddala mu gavumenti ya president museveni, nga oluvanyuma yawummula emirimu nafuuka omutunulizi w’ensonga okusingira ddala eza ssemateeka wa uganda.
kanyeihamba era ajjukirwa nnyo okuba omuwandiisi, ssonga yali omu kubalamuzi abasatu abaawakanya okuddibwamu okulondobwa kwa President Museveni mumwaka gwa 2006 nga bagamba akalulu kajjulamu emivuyo mingi era nga baali bagala obuwanguzi bwe busazibwemu.
Mububaka obukungubaga , sipiika wa palamenti Annet Anita Among nga asinziira kumukutu gwe ogwa X -omugenzi amwogeddeko nga eyawaayo obulamu bwe bwonna okuwereza eggwanga lye mubifo ebyenjawulo, ate ye president w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Sentamu alaze nga eggwang abwerifiriddwa omuntu owamaanyi munsonga zamateeka.


