Endagamuntu Empya Ziwedde Okukola, NIRA Ekakasizza Abaamala Okuzza Obuggya

Ekitongole ekivunanyizibwa kufulumya n’okugaba endagamuntu wano muggwanga ekya National Identification and Registration Authority -NIRA kitegezezza nga bwekyamaze okukola kundagamuntu zaabo abaasoka okuzza obuggya era nga esaawa zonna bakuzifuna.

Bwabadde ayogerako nebannamawulire, Claire Ollama okuva mukitongole ekya NIRA  agambye nti  okufulumya endaga muntu kwatandise sabiiti ewedde era nga bakafulumya eziwera 100,000 okuva mubitundu by’eggwanga ebyenjawulo  era nga balina essuubi nti enteekateeka eno yakuvaamu ebibala mubwangu.

Ono wabula asabye bannansi okubeera abakakkamu kunsonga yokufuna endagamuntu zabwe, kubanga ekitongole kyakukola entegeka ezokubatuusako obubaka obukwata kubifo webalina okufunira endagamuntu zabwe.

Ollama ategezezza nga endagamuntu ezaasoka bwezaafuluma mumwaka gwa 2014  ne 2015, era nga zaawebwa emyaka 10, nga wetwogerera ezisinga zagwako omwaka oguwedde nendala ziggwako omwaka guno. mukiseera kino, ono agamba endagamuntu eziwera obukadde 15.8 zakuggwako wetunatukira mumwezi ogwomunaana omwaka guno.

gavumenti ezze eyongerayo ebbanga eryokuddizako obuggya endagamuntu olwensonga ezitali zimu omuli ensimbi nebyuuma byekitongole ekya NIRA, nga wetwogerera enteekateeka egenda mumaaso yakuzza buggya ezaggwako, wamu nokubaako ebikyusibwa mundabika yayo.

Gyebuvuddeko, akulira ekitongole kya NIRA RoseMary Kisembo yalaga nga bannauganda obukadde 27.4 bebawandiise bokka kumuwendo ogwobukadde 45.9 ogwalabikira mubibalo bye ggwanga

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *