Akakiiko K’ebyokulonda Katangazizza Kunsimbi Zebakozesa Mukuwandiisa Abavuganya

Akakiiko k’ebyokulonda kavuddeyo okutangaaza kunsimbi akakiiko zekakozesezza mukugula nokufulumya empapula zokuwandiisa abagala okuvuganya kukifo kya pulezidenti wa Uganda mukalulu akajja aka 2026.

okusinziira ku mwogezi wakakiiko kebyokulonda mu ggwanga Julus Mucunguzi agamba nti bakozesa ensimbi nyinji okugula empapula zabavuganya kubwa pulezidenti nategeeza nti yensonga lwaki bagala palamenti erowooze kunsonga yembalirira yabwe nga akakiiko kebyokulonda nga waliwo okusaba okukoleddwa.ono agamba tebamanyi nsimbi ntuufu zebakozesezza mukufulumya ebyetagisa abagenda okuvuganya nga kuliko amateeka gebyokulonda, entambuza yakakulu kano nebigenda okugobererwa, erbiwandiiko ebigenda okujjuzibwa nokutekebwako emikono abalonzi okuva mu disitulikiti 98 nebirala.

kunsonga yabantu abakajjayo empapula, Mucunguzi agamba omuwnedo gukyeyongera nga wetwogerera basoba mu 100 okuva mubibiina ebyenjawulo okuli Nathan Nandala Mafaabi Owa FDC,Robert Kyagulanyi Sentamu owa NUP, Mubarak Munyagwa owa Uganda Economic Party ekigenda okufuuka Common Man’s Party Gen Yoweri Kaguta Museveni owa NRM, nabalala okuli nabatalina bibiina.

okusinziira kubamu kubajjeyo empapula, bagamba nti empereza eri abantu ebadde embi kumulembeze gwa pulezidenti yoweri kaguta museveni nga nolwekyo bannansi balina okubesiga okuzza eggwanga lino engulu.

omu kubajjeyo empapula asuubizza okulinnya kunfgeete  obulyake neobukenuzi mu ggwanga, okukuuma enfuga yamateeka, okukwata kunsonga zobutabanguko okusinziira kukikula kyabantu, enkulakulana yeggwanga, nokulaba nga eggwanga lidda kumugendo.

waddenga banji bajjeyo empapula, wabula era banji baganiddwa olwobutatukiriza bisanyizo ebimu. okusinziira kumateeka, omuntu yenna ayagala okuvuganya kubukulembeze bweggwanga yetaaga endagamuntu, ebiwandiiko byobuyigirize, nebisanyizo ebirala nga bwebirambikiddwa mu tteeka erya Presidential Elections Act

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *