Minisitule yebyentambula eraze obweralikirivu kunteekateeka zokuzimba nokuddabiriza enguudo mu ggwanga ezolekedde okuyimirira sinakindi okutambula akasoobo olwbbula ly’ensimbi.
Okusinziira ku minisita webyentambula Gen katumba Wamala,  enguudo nentindo ebiwera 27 byebigenda okukosebwa nga obuzibu buva kunsimbi okulwaawo, okulwaawo okufuna ettaka, nensonga endala. Enguudo ezigenda okukosebwa kuliko oluva e masindi okudda Biiso, oluva e kabaale- kiziranfumbi, kampala- MPIGI expressway.
Minisita katumba Wamala, agamba webwatukidde nga  1 July pulojekiti eziwera 27 okuli gavumenti zetekamu ensimbi, zino wetwogerera ba kontulakita emirimu bajiyimirizza nabamu okujivaako.
Katumba agamba obuzibu obunene buva kunsimbi entono ezabagerekebwa mumbalirira yeby’ensimbi eyo waka guno. Bano bakaweebwa obuwumbi 682  kubuse 3.153 ezabagerekebwa ate nga nazo zaali ntono nnyo.
Gavumenti mungeri yemu erina amabanja kakase kamu nomusobyo eziva kumyaka emikadde okuva muba contractors ssonga era  nokuliyirira abantu kuttaka betaaga obuwumbi 443 okusobola okutambuza pulojekiti .
Minisita katumba Wamala ayongeddeko nti enguudo za Uganda zeyongedde okwononeka nga mukiseera kino kilomita 1993 zetaaga okuddabirizibwa nendala kilomita 260 okuddamu okukolebwa..
Ono alabudde nti singa tezikolwako mubwangu, embeera yakwongera okwononeka
Please follow and like us:

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *