Gavumenti Eyimirizza Pulojekiti 27 Ez’okuzimba Enguudo N’entindo lwa Bbula lya Nsimbi
Minisitule yebyentambula eraze obweralikirivu kunteekateeka zokuzimba nokuddabiriza enguudo mu ggwanga ezolekedde okuyimirira sinakindi okutambula akasoobo olwbbula ly’ensimbi. Okusinziira ku minisita webyentambula Gen katumba Wamala, enguudo nentindo ebiwera 27 byebigenda okukosebwa nga obuzibu buva kunsimbi okulwaawo, okulwaawo okufuna ettaka, nensonga endala. Enguudo ezigenda okukosebwa kuliko oluva e masindi okudda Biiso, oluva e kabaale- kiziranfumbi, kampala- MPIGI…


