Sseggona Mumativu Nenteekateeka ya NUP eyokugaba Kaadi

Ekibiina Kya NUP, kitandise enteekateeka zokusunsula abanakwatira ekibiina bendera mukalulu kabonna akagenda okubaawo mu January w’omwaka ogujja,
Okusinziira kunteekateka z’ekibiina, bakutandikira kubagala okwesogga palamenti mu Kampala, Busiro East, nebitundu ebirala.
Omubaka Medard Lubega Seggona omu kubakulu mukibiina Kya NUP agamba bannauganda batekeddwa okwesiga okusalawo kwekibijna nokukiwa omukisa okulaga obwerufu muntekateka agenda mumaso.
Enteekateeka eno etunuliddwa nnyo abantu abenjawulo okuli bannabyabufuzi, abatunulizi bensonga nabantu abalala.
Seggona agamba nti bakukozesa obwenkanya mukusunsula bannakibiina era alina obwesige kunteekateka ezitereddwawo, olwemgeri gyebagenda okulondamu abanakwatira ekibiina bendera.
Ono asabye abagala okukuba ebituli munteekateeka zabwe balindeko ziggwe kubanga kino SSI kyekiseera ekituufu okuva lwekiri nti bakusinziira kumaanyi ga bantu, era bakukozesa amaanyi gabantu okulaba nga emirandira gyekibiina jiggumira ate nga mimativu nokusalawo kwekibiina.
Mungeri yemu alaze nga bannakibiina bwebatekeddwa okugondera nokukkiririza munkola egenda okugobererwa, nga boolesa obwenkanya ne demokulasiya kubanga ekigenda okukolebwa kugezesebwa okwamaanyi mulutalo lwebalimu era kyakulaga obukulembeze bannauganda bwebagala mukyala egyomumaaso.