Omubaka Centenary Asekeredde Abanyooma Nandala Mafaabi kubwa Pulezidenti

Oluvanyuma lwekibiina Kya FDC okusalawo okukwasa Nathan Mandala Mafaabi omumuli okukwatira ekibiina bendera kubwa pulezidenti mukalulu kabonna akagenda okubaawo omwaka ogujja, abantu banji batunulidde ensonga lwaki abadde pulezidenti w’ekibiina Patrick Amuriat yasazewo okuva muntebe agikwase munne.
Kati amyuuka omwogezi wekibiina kino Robert Centenary avuddeyo okwongera okuwagira enterkateka eno nga agamba bonna ababuusabuusa obusobozi bwa Mafaabi bakwewunya nnyo.
Centenary agamba okusalawo kuno kwasinzidde ku semateeka wekibiina era nga buli nsonga yagobereddwa bulungi.
Asabye abantu obutanyooma Mafaabi kubanga ebiseera bingi abantu abatwalibwanga abanafu batera okuwangula, ekyokulabirako awadde kikye bweyayingira akalulu abantu nebalowooza nti munafu wabula ate nawangula..
Ono agamba ensonga yokugaba kaadi y’ekibiina okuvuganya kubwa pulezidenti  yakwatiddwa mungeri eyo okwewala entalo nokulwanagana mukibiina ssinga wabawwo akalulu.
Centenary ayonmgedde okulaga amaanyi ga Mafaabi nga nokubeera mu palamenti ebbanga eddene kimuwa enkizo okukulembera eggwanga.
 Ono asabye bannauganda obutanyooma nteekateka za FDC nga twolekera akalulu era begendereze abalekaana ennyo nga tebalina kyebagasa ggwanga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *