Poliisi eweze ensawo, vuvuzela Mukisaawe e Namboole

Nga Uganda yetegekera omupiira gwayo  ne ggwanga lya Guinea olunaku olwaleero nga guno Uganda egusuubiramu obuwanguzi, poliisi ya Uganda erabudde abawagizi abagenda mukisaawe e Namboole kubyokwerinda, nga Kati ebintu nga ensawo enene tebikyakkirizibwa.
Munsisinkano ya poliisi nabategesi bempaka zino naba CAF basazeewo okuwera ebintu ebisinga okuli keesi (suitcase), vuvuzela, eccupa za glass, enyondo, obukebe bwomukka, fireworks nebirala ebyandiba eby’obulabe.
Ensonga zino zitabudde abawagizi naddala abaalabikako mumuzanyo ogwasooka nga bakwataganye nensawo.
Okusinziira kunsonda ezomunda,waliwo abawagizi abatambula nebintu ebitategerekeka munsawo enene, nga mulimu ebintu ebigambibwa okubawa amaanyi nga bawaga olwomupiira.amaanyi gekisajja waddenga bino tebimanyiddwa mugaso gwabyo mumbeera yebyemizannyo
Uganda cranes mumupiira ogwasooka yakubwa eggwanga lya Algeria goolo 3-0 mumupiira ogwalabibwa enkumi nenkumi z’abawagizi.
Abagenyi ba Algeria befuga omupiira gwonna okuva kuntandikaa okukakkana nga batutte obuwanguzi ku uganda
Kunsonga yabawagizi obutaleeta kintu kyonna ku kisaawe, poliisi egamba eyagala kunyweeza byakwerinda kumipiira gyonna olwaleero nga Algeria yesokawo nga ettunka ne South Africa ku sawa kkumi nemu olwo Uganda ekwatagane ne Guinea kusaawa bbiri akawungeezi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *