EMPAKA ZA CHAN: Uganda Cranes Ettunka ne Algeria olwaleero

Olugendo lwa Uganda mu mpaka za CHAN 2024, lutandika olwaleero nga ettunka ne Algeria mukisaawe e Namboole.
Uganda cranes erina ekirubirirwa ekyokujjawo ekipali kyokukoma kumutendera gwebibinja efananeko baliranwa baayo aba Tanzania NE Kenya abawangudde emizanyo gyabwe egyassose.
Guno mulundi gwamusanvu uganda cranes okwenyigira mimpaka za chan waddenga tesukka mutendera gwa bibinja.
Bano Bali mukibinja ekirimu Algeria, South Africa, Guinea, ne Niger era nga uganda yetaaga okuwagula omuzannyo ogusooka bwebanga yakukyuusa olugero lwaayo.
Omutendesi Morley Byekwaso agamba alina okukkiriza nti abalenzibe betegefu okwanganga buli tiimu.  Ono agamba nti okuzanyira omupiira okusooka kubutaka kizibumu, wabula betaaga amaanyi manji. Akakasizza nga bwebatalina balwadde ku tiimu era buli muzannyi mwetegefu okukola ekyetagisa mumaaso g’abawagizi.
Allan okello kapiteeni wa tiimu ya Uganda cranes agamba nti balina enyoonta nga abazanyi era betegefu okukola ekisinga
Ono ajulizza omupiira ogwaali wakati wa Uganda cranes ne Algeria mumpaka eza FIFA WORLD CUP, ogwaggwa 2-1, agamba bakuyigira kunsobi zebaakola okufuna obuwanguzi bwa leero.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *