Poliisi ekakasizza nga bwekutte omukyala agambibwa okuba nga yeyasemba okulabwako n’omugenzi Dr John Spire Kiggundu nga tanafa.
Dr Kiggundu yava mubulamu bwensi eno omwezi oguwedde era omubiri gwe gwasangibwa mumbeera etaategerekeka mukisulo ekimu mubitundu bye Lubowa kuluguudo lwe Entebbe.
Omukwate ategerekese nga Eva Mbabazi agambibwa okuba mumyaka egya 20. ono okukwatibwa, waliwo amawulire agazze gatambulira kumikutu mugatta bantu nga abantu bamulumiriza okuberako nomugenzi ebbanga ttono nga tanafa.
Okusinziira kumwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, SSP Patrick Onyango, omugenzi Dr Kiggundu yasemba kugenda mukisulo ekya Dream Guest House e Lubowa era omulambo gwe jegwasangibwa. Onyango agamba nti obutambi obuliwo bulaga omukwate nga afuluma ekifo omugenzi kyeyali etegese okuberamu. Ono ku poliisi yajjidwako sitaatimenti era byonna byawerezeddwa dda mu wofiisi ya sabawaabi wa gavumenti okusobola okubalungamya.
Dr. John Spire Kiggundu abadde amanyiddwa nnyo munsonga zebyobulamu era nga pulzidenti wekibiina omwegattira abakugu mukulongoosa endwadde z’abakyala ezomunda ekya Association of Laparoscopic surgeons uganda.
Alipoota ezivaayo ziraga nti ono yafuna obuzibu kumutima waddenga nokutuusa kati poliisi ekyakola okunonyereza. mungeri yemu abobuyinza okuli ne poliisi basabye abantu bonna wamu nekumitimbagano okwewala okusaasanya amawulire agobulimba nga okunonyereza bwekugenda mumaaso.


