Kitalo! Omusika Wa Tamale Mirundi abuze!

Munnamawulile owerinya era omutunulizi weby’obufuzi atawunyikamu Joseph Tamale Mirundi yafa nga Augusto 13, muddwaliro e’Kisubi ngaweza egy’obukulu 60(November 25, 1964 – August 13, 2024).

Mirundi yazikibwa ku Sande nga Augusto 18 kukyalo Matale Kalagala mu Disitulikiti ey’ekyotera.

Mutabani wa Yowana Mirundi ne Molly Namatovu kati awezeza omwezi mulamba bukyanga afa. Nokutuusa kati omusika we akyabuze era akagulungutano ka ani anamusikira kumpi omwezi mulamba kakyagenda mumaaso.

Omuwandiisi ngali ne Mirundi ngatafa

Ensonda ez’esigika zitutegezeza nti abakulu abadukanya ziladiyo, Ttivi n’emikutu gyebyempuliziganya egiwerako Mirundi gyeyalinga akolera batuula bufofoofo okunonnya ani anajjuza ekifo kya Mirundi abadde agobererwa enyo era nga naye akye waniramu.

Agenze okufa, ngalina polugulamu ku TV ya SK Mbuga buli lwa Mande ne Sande ate kulw’okubiri ngabeera ku Radio 4 eya Balaamu Barugahara ne Adam Kungu kusaawa emu – okutuusa kussatu ezakawungezi, buli lwakussatu kumakya Mirundi abadde tayosa ku Beat FM ate kulwokuna ku Baba tv sawa 3-5, kulwokutano mumatulutulu nga abeera ku Impact FM eyomusumba Joseph Sserwadda. Kuno gattako okukyaala kumitimbagano ogwa Kwezi Robinson, Ogwa Kankaka, ogwa SML NEWS UG ne Kasuku Live eranga Kino akikoze okuva ku Balaza okutuuka ku Sande obutayosa okumala emyaka egiwerera ddala.

Ekifananyi kino kimu ku byagyibwa kumitimbagano nga Mirundi akyaziddwa kumikutu gyaffe

Ngojeeko SK Mbuga owa STV, Grace Balyeku owa Baba TV ne Balaamu Barugahara owa Radio 4, abemikutu emirala Mirundi babadde tebamusasula. Némubanno era Balamu yabadde amusasula emitwalo 15 buli lwakubiri abalala ngabamulinda alina kizibu nebalyoka bamuwa bbo kyebaba balabye y’ensonga lwaki ebizibu bye abadde atera kubyolekeza Hamis Kiggundu gwayita Mutabani we era omu ono ye yawa ne Mirundi emizigo ena egyamaduuka e Nakivubo agyemu ensimbi.

Adam Kungu yeyasoka okuteeka Kumukutu gwa X(edda eyayitibwanga twitter) ekibuzo ngayagala abawuliriza Radio 4 basalewo ani gwa baazza mukifo kya Mirundi ku Radio 4 era nebamuwa amannya omuli Frank Gashumba, Mutabaniwe Tamale Mirundi Junior, Charles Rwomushana, Simon Muyanga Lutaaya, Ibrahim Ssemujju Nganda, Luttamaguzi , Moses Bigirwa, Alphonse Bajjo nabalala. Kyoka mubano era tewali kukaanya nga buli omu alina ensonga emukendeeza ko okubanga teyenkana Mirundi.

Kumikutu 13 Mirundi kw’abadde asiiba tewanabawo amusikira ngasobola okuwayo obudde na magezi okugenda buli kumukutu wabula buli omu okuyiya ekibikka pulogulamu gyabaddeko.

Ngawayise omwezi mulamba bukya azikibwa nga Augusto 18,2024. Omusika wa Mirundi munamawulire akyabuze kyoka era nana musikira mumasaayi tanalangirirwa okutuusa abafamile lw’ebanayabya olumbe.

Emu kumboozi z’omuwandiisi ne Tamale Mirundi ng’akyaali muddwaliro e Kisubi

Gwe olowoza ani asobola okusikira Mirundi kumikutu gy’abadde agenda eranga asobola okusunsula ensonga ngateyetya nga Tamale Mirundi bwabadde?

About the Author

Sir Simon Muyanga Lutaaya is a journalist whose career spans over two decades. He is passionate about business, social – economic transformation, and neonatal health. He can be reached on 0703700309 or Email: smlmediac@gmail.com.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *