Ogw’abavunanibwa okwagala Okutta Nabbi Daudi gwa March 23

 

Kkooti y’omulamuzi omukulu e Jinja esazewo olwa nga March 23 okwongera okuwulira omusango gwa basajja 4 abavunaniibwa okw’ekobaana nebagezaako okutemula omukulembeze we kkanisa ya Universal Apostles Fellowship Church of Righteousness Nabbi Daudi Isanga.

Abavunaniibwa ye Sande Mukisa,Emmanuel Muguwa ne Seemu Musasizi ngabatuuze b’e Jinja saako omusomesa Samuel Muwanguzi omutuze we Mutungo – Bbiina abakwatibwa mu bifo ebyenjawulo nebatebwako omusango gw’okugezako okutemula Nabbi Daudi Isanga.

Bano bakwatibwa February 12 omwaka oguwedde mubitundu ebyenjawulo.

Omuwabi wa gavumenti mumusango guno agamba nti bano bekobaana nebagenda mulukungaana lw’enjiri kukitebe kyekkanisa eno ekisangibwa e Maggwa mu kibuga Jinja gyebayagala okutemula Isanga ne mundu.

Bakwatibwa kumusango guno wabula oluvanyuma oludda oluwabi nelukyusamu empaaba ngabagamba nti bano bagezaako kuwamba Isanga.

Abavunanibwa baali bakkiriza mu kkanisa eno abavayo nebawakanya ebikolwa byokuwewenyula abantu embooko,okukaka nokutabula obufumbo mubagoberezi ku bunabbi obwobulimba saako okupeeka abakiriza okuvujirira ekkanisa kubuwaze kyoka ensimbi ezisolozebwa nezikozesebwa okukkusa n’okugagawaza omuntu omu.

Bano era babadde bakuba enkungaana ez’enjawulo e Bwonda,Namutumba,Kirama,Nangonde,Kaliro ne Buwenge nga bakulemberwa namukadde aweza egy’obukulu 106 ngayomu kubatandisi be kkanisa eno eyayawukana ne Nabbi Daudi Isanga gweyeretera nakwaasa obuyinza okumusikira kyoka oluvanyuma ne bafuna obutakaanya Nabbi Joshua Micross Mafabi nagobwa mu kkanisa zonna 2400 z’eyezimbira.

Omwogezi wa Poliisi e Kiira afande James Mubi y’omu kubawadde obujulizi kubantu bano wabula nabanga atama – tamamu ekyawalirizza nomulamuzi Arinda okwagala okumugalira nga agamba nti alinga anyooma kkooti wabula oluvanyuma namusonyiwa namulagira aleete buli ekikwata ku musango guno nga March 23.

Ekkanisa eno emanyiddwa enyo nga eya Nuwa yagwamu nnabe abagoberezi nebeyawula abalala nebagobwa nga entabwe eva kubutakaanya wakati wabakadde abatandika ekkanisa eno okuvumirira enzirukanya yayo eyabavubuka bebasikiza obukulembeze.

Muno mulimu ekyokuwakanya okuwewenyula abakiriza kiboko,okufumbiza abantu mubuwaze nokubatabulira amaka saako okupeeka abakiriza okusonda omusimbi oguvujirira abatono nga abanji banyigirizibwa.

Abakulembeze mu Busoga abasinga obungi obutakaanya buno babumanyiiko wabula babwewala olw’enguzi egambibwa okusirisa buli abuyingiramu. Wabaddewo amaloboozi agasaba Pulezidenti Museveni ayingire mu nsonga zino wabula oludda olugagga nga lukozesa ensimbi okuziyiza buli agezaako okutuusa ensonga zino ewa mwami Museveni.

Ba puliida Obadiah Eunice Lwanga bebawolereza abawawabirwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *