admin

EMPAKA ZA CHAN: Uganda Cranes Ettunka ne Algeria olwaleero

Olugendo lwa Uganda mu mpaka za CHAN 2024, lutandika olwaleero nga ettunka ne Algeria mukisaawe e Namboole. Uganda cranes erina ekirubirirwa ekyokujjawo ekipali kyokukoma kumutendera gwebibinja efananeko baliranwa baayo aba Tanzania NE Kenya abawangudde emizanyo gyabwe egyassose. Guno mulundi gwamusanvu uganda cranes okwenyigira mimpaka za chan waddenga tesukka mutendera gwa bibinja. Bano Bali mukibinja ekirimu…

Read More

Gavumenti Eyimirizza Pulojekiti 27 Ez’okuzimba Enguudo N’entindo lwa Bbula lya Nsimbi

Minisitule yebyentambula eraze obweralikirivu kunteekateeka zokuzimba nokuddabiriza enguudo mu ggwanga ezolekedde okuyimirira sinakindi okutambula akasoobo olwbbula ly’ensimbi. Okusinziira ku minisita webyentambula Gen katumba Wamala,  enguudo nentindo ebiwera 27 byebigenda okukosebwa nga obuzibu buva kunsimbi okulwaawo, okulwaawo okufuna ettaka, nensonga endala. Enguudo ezigenda okukosebwa kuliko oluva e masindi okudda Biiso, oluva e kabaale- kiziranfumbi, kampala- MPIGI…

Read More

Omubaka Centenary Asekeredde Abanyooma Nandala Mafaabi kubwa Pulezidenti

Oluvanyuma lwekibiina Kya FDC okusalawo okukwasa Nathan Mandala Mafaabi omumuli okukwatira ekibiina bendera kubwa pulezidenti mukalulu kabonna akagenda okubaawo omwaka ogujja, abantu banji batunulidde ensonga lwaki abadde pulezidenti w’ekibiina Patrick Amuriat yasazewo okuva muntebe agikwase munne. Kati amyuuka omwogezi wekibiina kino Robert Centenary avuddeyo okwongera okuwagira enterkateka eno nga agamba bonna ababuusabuusa obusobozi bwa Mafaabi…

Read More

Akakiiko katandise okuwuliriza okwemulugunya okwaava mu kamyuufu ka NRM

Akamyuufu ka NRM akaggwa kaalabikiramu emivuyo mingi omwaali effujjo, enguzi nabasinga obutamatira byaava mukulonda. Mubitundu ebisinga ebyava mukulonda byalangirirwa wayisewo ennaku, nebitundu ebirala waliyo okuttingana nokukiwa omusaayi. Oluvanyuma lwabavuganya okwemulugunya kubyava mukulonda, mukulembeze weggwanga Yowering Kaguta Museveni yatondawo akakiiko akakulemberwa omulamuzi John Musisi okuwuliriza okwemulugunya kwonna okwaava mukalulu. Akakiiko Kano kabantu 29, era nga baawuddwa…

Read More

Sseggona Mumativu Nenteekateeka ya NUP eyokugaba Kaadi

Ekibiina Kya NUP, kitandise enteekateeka zokusunsula abanakwatira ekibiina bendera mukalulu kabonna akagenda okubaawo mu January w’omwaka ogujja, Okusinziira kunteekateka z’ekibiina, bakutandikira kubagala okwesogga palamenti mu Kampala, Busiro East, nebitundu ebirala. Omubaka Medard Lubega Seggona omu kubakulu mukibiina Kya NUP agamba bannauganda batekeddwa okwesiga okusalawo kwekibijna nokukiwa omukisa okulaga obwerufu muntekateka agenda mumaso. Enteekateeka eno etunuliddwa…

Read More

Kiki Ekyaviriddeko ba Minisita ba Museveni Okuwangulwa

Akamyuufu k’ekibiina kya NRM, akaakubiddwa sabiiti ewedde, kaalese abantu banji mukuyongobera okuli neba minisita wamu nababaka ba palamenti abaluddeyo emyaka egiwera. Bano banji baasigadde mukunyiga biwundu wamu nokuzirika oluvanyuma lwabamusaayi muto okwefuga akalulu akaalabikiddemu emivuyo emingi, okulwanagana nokwerumiriza okunyaga obululu mubannakibiina abamu. Abamu kubaasuliddwa ettale kuliko minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi David Bahati, minisita omubeezi ow’emirimu Musa Ecweru,…

Read More

KITALO: Abantu abenjawulo bogedde kumugenzi Kanyeihamba

Omulamuzi wa kooti ensukkulumu eyanyuka Prof George Kanyeihamba olwaleero avudde mubulamu bwensi eno oluvanyuma lwebbanga nga atawanyibwa n’obulwadde. Okusinziira kumawulire okuva mubenganda, omugenzi afiridde mu ddwaliro e Nakasero gyamaze ennaku nga awanirirwa kubyuuma. Kanyeihamba yazalibwa nga 11, Agusto 1939, era nga abadde omu kubanmmateeka abamaanyi mu ggwanga uganda wamu nobukugu mubyenjigiriza. Ono wakusigala nga ajjukirwa…

Read More

Endagamuntu Empya Ziwedde Okukola, NIRA Ekakasizza Abaamala Okuzza Obuggya

Ekitongole ekivunanyizibwa kufulumya n’okugaba endagamuntu wano muggwanga ekya National Identification and Registration Authority -NIRA kitegezezza nga bwekyamaze okukola kundagamuntu zaabo abaasoka okuzza obuggya era nga esaawa zonna bakuzifuna. Bwabadde ayogerako nebannamawulire, Claire Ollama okuva mukitongole ekya NIRA  agambye nti  okufulumya endaga muntu kwatandise sabiiti ewedde era nga bakafulumya eziwera 100,000 okuva mubitundu by’eggwanga ebyenjawulo  era…

Read More