Poliisi erabudde abazadde okuba abegendereza mukiseera kino ekyoluwummula olutandise. bwabadde ayogerako eri bannamawulire enkya yaleero kiukitebe kya poliisi e Nagguru, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke ategezezza nga oluwummula bwerujja nebikemu bunji naddala eri abayizi abava kumasomero. ono agamba abayizi nga bali ewaka, obulagajjavu bweyongera ssonga nobubenje wamu nebikolwa ebyobukaba.
poliisi mungeri yemu erabudde abalabirira abaana obutageza kutuma baana bato mubibuga bokka nekumaduuka okusingira ddala mubudde obwakawungeezi, ssonga era abazadde balabuddwa kubibonerezo ebikakali eri baaana.
Kituuma ayongeddeko nti abazadde abamu battima okutuuka okukozesa abaana emirimu egisukka kumyaka jabwe nga agamba bino kiteeka pobulamu bwabaana mumatigga nobulabe bwokutwalibwa mubikolwa ebikyaamu nga obubbi
