Eby’obufuzi mu KACITA: Kati Ani Ssentebe Omutuufu?

Enkalu zikyeyongedde mukibiina kyabasuubuzi ekya KACITA oluvanyuma lwabadde sentebe wakyo Dr Musoke Thadeus Nagenda okukwatibwa kunkoona lwakwenyigira mubyobufuzi.

Ekyebuuzibwa obwa nga olutalo luno lutunulidde kibiina ekiri mubuyinza ekya NRM, Dr Musoke Nagenda mweyasinziira okuvuganya nga ayagala kaadi kukifo kya loodi meeya wa kampala.

Nga ennaku zomwezi 4, ogwomunaana omwaka guno, omuwandiisi webyensimbi mukibiina kya KACITA, Timothy Baguma yavaayo nalangirira nga Dr Musoke Thadeus Nagenda bweyali ajjiddwa kubukulembeze bwekibiina kya KACITA lwakwenyigira mubyobufuzi nga ayagala kifo kya loodi meeya wa Kampala ku kaadi ya NRM. kukifo kya sentebe, Baguma yalonda Hajji Isa Sekitto abadde omwogezi wekibiina okugira nga akwata entebe okutuusa lwebalonda obukulembeze obujjuvu.

Ensonga yokugoba Nagenda yaletawo envuvuumo ezenjawulo kunjuzi zombi okuli  abasuubuzi nekuludda olwebyobufuzi nga ekyebuzibwa oba nga semateeka wekibiina kya KACITA akugira omuntu yenna okuvuganya kukifo kyonna ekyebyobufuzi.

Waddenga guli gutyo, ye Dr Musoke Thadeus Nagenda agambibwa okukwatibwa kunkoona, byonna ebigenda mumaaso takkanya nabyo era agamba ye sentebe wa KACITA omujjuvu.

Ono asabye abantu naddala abasuubuzi obutagendera kubiwandiiko biyitingana kumitimbagano kubanga ebikolebwa ekibiina kati ssibituufu.

Nagenda nga asinziira mukiwandiiko kyeyafulumizza kuntikko ya sabiiti, agamba olukiiko olwatuula e Muyenga nga 14 omwezi guno olwakubirizibwa Godfrey Kirumira lwetabwamu abaaliko kulukiiko olwokuntikko nga naye kwaali, terulina buyinza kukola kusalawo kwonna kulwekibiina kubanga terwalina bisanyizo bikkirizibwa mu semateeka nga nolwekyo byonna ebyavaamu tebirina webikoseza bukulembeze bwakibiina.

Ngenda ayongedde okukkatiriza nti enkyukakyuka zonna mukibiina zirina kukolebwa okusinziira ku semateeka wekibiina ea nga zikolebwa ku ttabamiruka eyetabwamu ba memba bonna.

kunsonga zebyobufuzi ezigambibwa okuvirako Dr Musoke okugobebwa, ono agamba talina kirowoozo kyakweyongerayo kuvuganya mukalulu kabonna aka 2026, okuva lwekiri nti yawangulwa mukamyuufu. agamba kati essira wakuliteeka kukuwereza abasuubuzi namanyimge gonna.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *