kooti enkulu e masaka ewadde ennaku okuwerako ensala yokusaba kwokweyimirirwa kwabayambi bakulira ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Sentamu. Omulamuzi Fatuma Nanziri Bwanika ataddewo olwanga 22 omwezi guno ogwomunaana oluvanyuma lwokuwulira enjuyi zombi mumusango gwobubbi nokutulugunya bannamawulire egivunanibwa Achileo Kivumbi, Edward Ssebuwuufu amanyiddwa ennyo nga Eddie Mutwe, Grace Wakabi amayiddwa nga Smart-wa Bobi, Gadaffi Mugumya nga bano baakwatibwa kuntandikwa yomwaka guno.
okusinziira kumisango egivunanibwa bano, kigambibwa nti baayonona kamera, essimu wamu nokutulugunya bannamawulire abakyala babiri abaali bakola emirimu hyabwe kukyalo Manja mu gombolola ye Kisekka mu district ye Lwengo waddenga emisango bajegaana nga bagamba zino nsonga zabyabufuzi
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwano Micheal Wakosesa e Masaka, abakwate era banyaga essimu zi sseereza nemitwalo 200,000 songa era baatisatiisa abantu abawera nebintu ebyobulabe.
Olunaku lweggulo bano baalabiseko mu kooti e masaka nga bakulembeddwamu bannamateeka babwe Elias Luyimbazi Nalukoola, Shamim Malende, Samuel Muyizi ne Kato Tumusiime nga bagala abantu babwe baweebwe beyiro bawoze nga bava wabwero wa kkooti.
Munamateeka wabano Nalukoola abulidde omulamuzi nga abakwate bwebaludde mu kkomera ku alimanda nga tebawozesebwa ekintu ekikontana ne semateeka kubanga tebanasalirwa musango.
Nalukoola era agamba nti abenganda zabakwate okuli abaana nabazadde babetaaga okuli abalwadde nabatakyasobola kwebezaawo kubanga bano bebaali bayimirizawo amaka gabwe.
Bano baleese ababeyimirira okubadde ababaka ba palamenti bataano, meeya wekibuga Masaka Florence Namayanja wamu nabenganda zabakwate wabula kooti erabye katemba nga abamu kubeyimiridde tebalina wadde ebbaluwa zekyaalo nendagamuntu okukakasa obutuuze bwabwe.
okusinziira kumuwaabi wa gavumenti e Masaka Micheal Wakosesa, asabye kooti egobe okusaba kwabano nga agamba nokunonyereza mumisango egibavunibwa kwawedde nga nolwekyo tewali nsonga yakusaba beyiro wabula balinde kutandika kuwoza. ono era agamba okusinziira kumisango egibavunanibwa, ssinga baweebwa beyiro, abakwate abamu bandibulawo nekizingamya emisango gino., bino byonna biwakanyiziddwa oludda oluwawabirwa.

https://shorturl.fm/2hVNU