Gavumenti esabye abalimi b’emmwanyi okusigala nga bakakkamu wamu n’okwongera okusimba emmwanyi nga bwebongerako omuntindo kyongere kunyingiza yabwe wamu n’okusigala kukatale namawanga amalala okuli Brazil ne Vietnam.
Bino bijjidde mukiseera nga ministry y’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi kyejje efulumye emiwendo emipya egy’emmwanyi nga gyongedde okukka
Okusinziira ku minisita Frank Tumwebaze, alipoota eyakoleddwa minisitule eno eyafulumizibwa gyebuvuddeko yalaze nga bbeeyi y’emmwanyi bweyasse omwezi oguwedde olwensonga ezenjawulo okuva mumawanga amalala.
Wetwogerera bbeeyi y’emmwanyi ekika kya Robusta kiboko egula sirings 11,000, Arabica agula wakati wa 5,000- 5500, ssonga ate kase agula 14,000.
Okusinziira ku gavumenti, emiwendo okukka kivudde kumbeera y’obudde entebenkevu muggwanga lya Brazil nga kino kiretera abetaaga emmwanyi okusuubira ekinene okuva mumawanga nga Uganda.
Ensonga endala yabwetaavu bwemmanyi kukatale kensi yonna ssonga neggwanga nga Vietnam lifulumya emmwanyi nyinji ekitta akatale ka Uganda.
Minisitule y’ebyobulimi egamba nti waddenga embeera ssinnungi eri abalimi, wabula alipoota ezakolebwa wakati wa June omwaka oguwedde ne May omwaka guno ziraga nti emmaanyi ezaasubuzibwa ebweru w’eggwanga zeyongerako n’ebitundu 22% mubungi ssonga omuntido gweyongera nebitundu 93.6%bwogerageranya nemyaka egiyise.
Wano minisita Tumwebaze wasinzidde okugumya abalimi bemmwanyi nalaga nga embeera bwegenda okuterera wabula basigale nga bafa kumutindo gwemwanyi zebafulumya.


